National News

Okwogera kwa Katikkiro ku nsonga ey’okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.

BY — Charles Peter Mayiga

Mbalamusizza nnyo mwenna.Mbakulisa omwaka 2020. Mbasabira 2021 gube mulungi, nga mulina obulamu obulungi, essanyu, eddembe n’okugenda mu maaso.2. Ku Lwokuna nga 14 January, 2021, lunaku lwa kulonda pulezidenti n’ababaka ba palamenti. Kaweefube ow’okunoonya akalulu abaddemu vvaawompitewo. Abantu bafiiriddemu bangi; abalala basibiddwa mu makomera; waliwo abanyiga ebiwundu; era abaddemu obunkenke bungi.Kyokka tubakubiriza mugende mulonde, newandibadde okunoonya akululu kubaddemu ebirumira bingi.Olunaku olwa 14 January, 2021, luliko okulonda pulezidenti; ababaka ba palamenti; okuli n’ababaka ba palamenti ab’abakyala. Ku abo abasatu, oyinza okuyisaako omu, oba ababiri, oba abasatu.Olw’okuba akalulu kabaddemu ebirumira kireme kutulemesa kulonda anti n’ebwoba n’oluggi olunafu era oluggalawo. Emmere n’ebwesiriira era evumula enjala.Omu ku abo abasatu abanaalondebwa nga 14 January, 2021 bw’ayitamu, oba abasatu b’owagira bwe bayitamu, wabaawo essuubi nti ensonga gye wavaako okulonda abantu abo eneegonjoolwa.Bw’oba tolonze, tolina w’osinziira kugamba nti ebikuluma tebikoleddwako. Bw’olonda naye gwewalonda n’atakola ku bikuluma, olimugamba nti twakulonda kukola ku by’amalwaliro, ku by’amasomero, ku bya kutondawo mirimu, ku bya kulwanyisa nguzi, naye byonna bikulemye – era mu maaso eyo omukisa gufunibwa ogumubonereza.Awonno, mulonde n’obwegendereza, nga mulonda abantu abalimu ensa, abantu abategeera obwetaavu Uganda bw’erina, abasobola okunogera ebizibu byetulina eddagala, abeesimbu abalumirirwa omuntu wa bulijjo.3. Tukowoola Akakiiko k’Ebyokulonda, okutegeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya. Akalulu akatali ka mazima na bwenkanya kye kimu ku bintu ebitabangudde ebyobufuzi bya Uganda. Abantu bwe balaba ng’enteekateeka y’akalulu ebadde ya bwesimbu, ebadde ya mazima na bwenkanya, ebivaamu babikkiriza mangu.Awonno, Akakiiko k’ebyokulonda kalina omulimu munene nnyo okulaba ng’abantu kye baba beesaliddewo kivaayo mu bulambulukufu.4. Okulonda kubaamu okuwangula n’okuwangulwa. Akalulu kafaananako omupiira: wabaawo awangula; wabaawoasingibwa; kyokka oluusi wabaawo n’okugwa amaliri – kwe kugamba abavuganya ne basibagana.N’olwekyo, lema kugwa muliranwa mu bulago olw’okuba awagira omuntu ggwe gw’otayagala.Buli muntu waddembe okuwagira omuntu ne langi y’ekibiina gy’ayagala – era guno si musango. Tokuba munno olw’enjawukana z’ebyobufuzi.Okulonda kujja kuggwa naye Uganda ejja kusigalawo. Mbasaba musoosowaze Uganda n’abantu kubanga buli omu ku ffe Uganda agiryako makoola.Tuleme kuvumagana; kuyombagana; kulwanagana n’ebikolwa byonna eby’obutabanguko kubanga okulonda kubaamu okuwangula n’okuwangulwa.5. Tusaba ab’ebyokwerinda bwe baba bakwasisa amateeka n’ebiragiro, bakozese bukugu, so ssi bukambwe.Mu ngeri yeemu, tusaba ab’ebyokwerinda emirimu bagikole mu bwesimbu – nga baweereza Bannayuganda bonna awatali kubaako gwe basosola oba okuttira ku liiso. Abantu bangi nnyo bafiiridde mu biseera eby’okunoonya akalulu. Tetusaana kwongera kufiirwa bantu balala. Abalala bali mu makomera.Ku lunaku olw’okulonda era n’okulonda ne bwekunaaba kuwedde, ffenna tusaana tugoberere amateeka n’ebiragiro.Kyokka bwe wabaawo ababa bamenye amateeka, baleme kuyisibwa nga bisolo bya kuttale.Okukwasisa amateeka n’ebiragiro kyetaagisa bukugu n’okukola mu bwesimbu. Obukambwe n’obusungu bwe biyitirira bivaamu kuyiwa musaayi.Twewale obutabanguko mu kulonda. Twewale okuyiwa omusaayi kubanga akalulu tekenkana muwendo gwa bulamu bwa muntu.6. Abamawulire betulindirira bulijjo okututuusaako ebifa mu ggwanga. Ab’ebyokwerinda tubasaba abamawulire babayise ng’abantu. Abamawulire si be bali mu lwokaano. Bbo basaka mawulire ne bagatutuusaako nga bwe baba bagafunye.Tebasaana kutulugunyizibwa; era tebasaana kukugirwa kunoonya mawulire.7. Ffe mu Buganda, tulina Ensonga Ssemasonga Ttaano: Okukuuma, Okunyweza n’Okutaasa Nnamulondo; Okugabana Obuyinza mu nkola eya Federo; Okukuuma Ettaka n’Ensalo za Buganda; Okukola Obutaweera abantu bafune enkulaakulana n’obulamu obulungi; n’Okubeera Obumu.Nga mulonda, mwekalirize nnyo abo abategeera Ssemasonga Ettano; olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lwetaaga okutegeera n’okussa ekitiibwa mu Ssemasonga ezo Ettaano.Tubakubiriza okugenda okulonda; okugoberera amateeka; ate n’okussinganamu ekitiibwa.Ayi Katonda Kuuma Kabaka waffe!

Charles Peter Mayiga KATIKKIRO

Tags
Show More

Ssentongo Patrick Kibira

Journalism Scholar / Creative Writer / News Reporter / PR Guru / Friendship Couch / Corporate MC / TV & Radio Host / Boy Child Rights Advocate / Expert Speaker / ~ CRAFTING STORIES FOR VIRTUAL REALITY~

Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Back to top button
Close
Close